2 Chronicles 26:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Yeruzaalemu yakoleramu ebyuma ebikasuka enkonyogo ebyayiiyizibwa abakozi abakugu, n'abisimba ku minaala ne mu nsonda z'oku bbugwe bikasuke obusaale n'agayinja aganene; erinnya lye ne litutumuka, kubanga yaayambibwa mu ngeri ey'ekitalo okutuusa ng'afuuse w'amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akozesa ebyuma mu Yerusaalemi ebyayiyizibwa abasajja abamanyirivu, ebyakozesebwanga ku minaala ne ku nkomera okulasa obusaale n’okuvuumuula amayinja amanene. Yayambibwa nnyo, n’atutumuka era erinnya lye ne lyatiikirira nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja be ab'amagezi ne bayiiya ebyuma ebyateekebwa ku minaala ku nsonda za bbugwe okulasa obusaale n'okukasuka amayinja amanene. Ettutumu lye ne lituuka wala, n'aba wa maanyi, olw'obuyambi obungi ennyo bwe yafuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola mu Yerusaalemu ebyuma ebyayiiyizibwa abasajja ab'amagezi, ebiteekebwa ku minaala ne ku nsonda z'ekigo okulasa obusaale, n'okukanyuga amayinja amanene. Ettutumu lye ne lituuka wala, n'aba wa maanyi olw'obuyambi obungi ennyo bwe yafuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akolera mu Yerusaalemi ebyuma ebyagunjibwa abasajja ab'amagezi okubanga ku bigo ne ku nkomera eby'okulasa obusaale n'amayinja amanene. Erinnya lye ne lyatiikirira wala; kubanga yayambwanga kitalo okutuusa lwe yafuna amaanyi.