2 Chronicles 26:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe yamala okufuuka ow'amaanyi, omutima gwe ne gwewanika, ekyamutuusa ku kuzikirira. Teyali mwesigwa eri Omukama Katonda we; yayingira mu Kiggwa ky'Omukama n'ayagala okunyookeza obubaani ku mwaliiro gw'obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Uzziya bwe yatutumuka, ne yeegulumiza, n’okugwa n’agwa kubanga teyali mwesigwa eri Mukama Katonda we, n’okuyingira n’ayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky’obubaane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Uzziya bwe yafuna amaanyi, n'afuna muli amalala, n'akola ebikyamu n'anyiiza Mukama Katonda we, kubanga yayingira mu Yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky'oterezebwako obubaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Kabaka Wuzziya bwe yafuna amaanyi, ne yeekuza, ne kimuviiramu okukola ebikyamu n'anyiiza Mukama Katonda we. Kubanga yayingira mu Ssinzizo lya Mukama okwotereza obubaane ku alutaari eyoterezebwako obubaane.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye lwe yafuna amaanyi omutima gwe ne gugulumizibwa n'okukola n'akola eby'obukyamu n’ayonoona Mukama Katonda we; kubanga yayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky'obubaane.