2 Chronicles 26:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne beesimba mu maaso ga kabaka okumuziyiza, ne bamugamba nti: “Tokola kituufu, Wuzziya, okunyookeza Omukama obubaani. Ogwo mulimu gwa bakabona, batabani ba Aroni, abaatukuzibwa okunyookeza obubaani. Ekitukuvu kyamuke, kubanga tobadde mwesigwa, n'Omukama Katonda tajja kukutenda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bamuziyiza, nga bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, naye mulimu gwa bakabona bazzukulu ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Ffuluma ove mu watukuvu, kubanga osobezza, era tojja kusiimibwa Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baziyiza kabaka Uzziya, ne bamugamba nti, “Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane, wabula gwa bakabona ab'olulyo lwa Alooni, abaayawulibwa okwotezanga obubaane. Vva mu kifo ekitukuvu, kubanga oyonoonye, era Mukama Katonda tajja kukuwa kitiibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baziyiza Kabaka Wuzziya, nga bamugamba nti: “Wuzziya, si mulimu gwo okwotereza Mukama obubaane, wabula gwa bakabona ab'olulyo lwa Arooni, abaayawulibwa okubwotereza. Vva mu kifo ekitukuvu, kubanga osobezza. Era Mukama Katonda tajja kukuwa kitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne baziyiza Uzziya kabaka, ne bamugamba nti Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane wabula gwa bakabona batabani ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane: va mu kigwa; kubanga oyonoonye; so tekiriba kya kitiibwa kyo okuva eri Mukama Katonda.