2 Chronicles 26:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuzziya yali akutte ekyoterezo anyookeze obubaani, n'anyiiga. Yali akyakalalira bakabona, ekigenge ne kimukwata mu kyenyi awo mu maaso ga bakabona mu nnyumba y'Omukama ku mwaliiro okunyookezebwa obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Uzziya n’asunguwala ng’akyakutte ekyoterezo mu mukono gwe. Mu kiseera ekyo ng’asunguwalidde bakabona ng’ayimiridde ku mabbali g’ekyoto eky’obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ebigenge ne bimukwata ekyenyi kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Uzziya n'asunguwala nnyo, era yali ayimiridde awo ku kyoto kyo obubaane, ng'akutte ekyoterezo kyakwo, awo bwe yasunguwalira bakabona, ebigenge ne bimukwata mu kyenyi nga bakabona balaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Wuzziya n'asunguwala nnyo. Yali ayimiridde awo mu Ssinzizo okuliraana n'alutaari eyoterezebwako obubaane, ng'akutte ekyoterezo kyabwo. Bwe yasunguwalira bakabona, ebigenge ne bimukwata mu kyenyi nga bakabona balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Uzziya n'asunguwala; era yali alina ekyoterezo mu mukono gwe okwoteza obubaane; awo ng'asunguwalidde bakabona ebigenge ne bifuutuuka mu kyenyi kye mu maaso ga bakabona mu nnyumba ya Mukama ku mabbali g'ekyoto eky'obubaane.