2 Chronicles 26:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Azariya kabona ne bakabona bonna gye baakuba amaaso, nga balaba kigenge mu kyenyi kye, amangu ago ne bamufulumya ebweru; naye yennyini yali anoonya kufuluma, kubanga Omukama yali amubonerezza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Azaliya kabona asinga obukulu ne bakabona abalala bwe bamutunuulira, ne balaba ng’akwatiddwa ebigenge mu kyenyi kye ne banguwa okumufulumya ebweru. Ate era naye yennyini n’ayagala okufuluma kubanga Mukama yali amukubye omuggo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, ne balaba nga akwatiddwa ebigenge mu kyenyi, ne banguwa okumufulumya ebweru, era naye yennyini n'ayanguwa okufuluma kubanga Mukama yali amubonerezza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Azariya Ssaabakabona ne bakabona bonna, bwe bamutunuulira ne beetegereza ebigenge ebimukutte mu kyenyi, ne bamugoba ave mangu mu Ssinzizo. Era naye yennyini n'ayanguwa okufuluma kubanga Mukama yali amubonerezza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, era, laba, ebigenge nga bimukutte mu kyenyi, ne banguwa okumusindiikiriza okuvaamu; weewaawo, ye yennyini n'ayanguwa okuvaamu kubanga Mukama amulwazizza.