2 Chronicles 26:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka Wuzziya yalina ekigenge ekyamusigalako okutuusa ku kufa; yasulanga mu nnyumba njawufu yekka, nga mugenge, takkirizibwa mu Kiggwa kya Mukama. Yotamu mutabani wa kabaka ye yafuganga olubiri, era ye yalamulanga n'abantu b'omu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Uzziya n’aba mugenge okutuusa lwe yafa, ng’abeera mu nnyumba eyayawulibwa ku ndala zonna olw’obugenge bwe, nga n’obuvunaanyizibwa bwonna bumuggyibbwako, ate era nga takkirizibwa kuyingira mu yeekaalu ya Mukama. Yosamu mutabani we n’atwala obuvunaanyizibwa obw’olubiri n’afuga abantu ab’eggwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Uzziya n'aba omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka, era nga takkirizibwa kuyingira mu nnyumba ya Mukama. Yosamu, mutabani we, n'abanga yakulira ennyumba ya kabaka, ng'ayafuga abantu ab'omu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Wuzziya n'aba mugenge obulamu bwe bwonna. Era olw'okuba omugenge, n'abeeranga mu nnyumba eyiye yekka, era nga takkirizibwa kuyingira mu Ssinzizo. Mutabani we Yonatamu n'akulira olubiri, nga ye afuga abantu b'ensi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Uzziya kabaka n'abanga omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'abeeranga mu nnyumba eyayawulibwa nga mugenge; kubanga yaggibwa mu nnyumba ya Mukama: Yosamu mutabani we n'abanga mukulu w'ennyumba ya kabaka, ng'alamula abantu ab'omu nsi.