2 Chronicles 26:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuzziya yagalamira ne bajjajjaabe, ne bamuziika wamu nabo mu kirimiro ky'ekiggya kya bakabaka, kubanga baali bagamba nti: “Yali mugenge.” Yotamu mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Uzziya n’afa, n’aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu kiggya kya bakabaka, kubanga, yali mugenge. Yosamu mutabani we n’amusikira, bw’atyo n’afuga mu kifo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Uzziya naafa, n'aziikibwa okumpi ne bajjajjaabe mu lusuku lwa bakabaka, sso si mu masiro ga bassekabaka, kubanga baagamba nti Mugenge. Yosamu mutabani we n'amufuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Wuzziya ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa kumpi ne we baaziikibwa sso si mu masiro ga bassekabaka, kubanga baagamba nti mugenge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Uzziya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibanja eky'okuziikangamu ekya bassekabaka; kubanga baayogera nti Mugenge: Yosamu mutabani we n'amuddira mu bigere.