2 Chronicles 26:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuzziya yafuuka kabaka nga wa myaka kkumi na mukaaga; yafugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yeruzaalemu. Nnyina yali ayitibwa Yekoliya, ng'asibuka mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Uzziya yali awezezza emyaka kkumi na mukaaga we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Yekkiriya ow’e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Uzziya yali wa myaka kkumi na mukaaga (16) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka ataano mu ebiri (52) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Yekkiriya ow'e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wuzziya yatandika okufuga nga wa myaka kkumi na mukaaga. N'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Yekoliya ow'e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Uzziya yali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekkiriya ow'e Yerusaalemi.