2 Chronicles 26:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yanoonya Katonda mu budde bwa Zakariya eyamugunjula mu kutya Katonda; ebbanga lyonna ng'anoonya Omukama, Katonda yamuwanga ebintu ne bimulamira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amalirira okunoonya Katonda mu biro bya Zekkaliya eyamubuuliriranga okutya Katonda. Era ebbanga lyonna lye yanoonya Mukama, Katonda n’amuwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne yeewaayo okunoonya Katonda, mu nnaku za Zekkaliya eyamuyigiriza okusaamu Katonda ekitiibwa. Era ebbanga lyonna lye yamala ng'anoonya Mukama, Katonda n'amuwa omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne yeewaayo okuweereza Katonda, mu biseera bya Zekariya eyamuyigiriza okussaamu Katonda ekitiibwa. Era ebbanga lyonna lye yamala ng'aweereza Mukama, Katonda n'amuwa omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne yeesimba okunoonya Katonda mu nnaku za Zekkaliya eyalina okutegeera mu kwolesebwa kwa Katonda: era ebiro byonna lwe yanoonyanga Mukama, Katonda n'amulabyanga omukisa.