2 Chronicles 26:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagenda okutabaala Abafilisitiini, n'amenya bbugwe w'e Gati, ow'e Yebune n'ow'e Asudodi. Yazimba n'ebibuga mu kitundu ky'e Asudodi ne mu Bafilisitiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agenda n’alwana n’Abafirisuuti, n’amenyaamenya bbugwe wa Gaasi, ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi, n’oluvannyuma n’azimba ebibuga okumpi ne Asudodi ne mu bitundu ebirala wakati mu Bafirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'alwana n'Abafirisuuti n'amenyera ddala bbugwe w'ekibuga Gaasi, n'owa Yabune n'owa Asudodi. N'azimba ebibuga mu kitundu ky'e Asudodi ne mu nsi y'Abafirisuuti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yagenda mu lutalo n'alwanyisa Abafilistiya, n'amenyera ddala ekigo ky'ekibuga Gaati ne Yabune ne Asudoodi, n'azimba ebibuga mu bitundu by'e Asudoodi n'awalala mu nsi y'Abafilistiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'atabaala n'alwana n'Abafirisuuti n'amenyera ddala bbugwe wa Gaasi ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi; n'azimba ebibuga mu nsi ya Asudodi ne mu Bafirisuuti.