2 Chronicles 26:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuzziya n'azimba eminaala mu Yeruzaalemu ku Mulyango gw'Ensonda ne ku Mulyango gw'Ekiwonvu ne ku nsonda ya bbugwe, n'abigumya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Uzziya n’azimba eminaala mu Yerusaalemi ku wankaaki ow’oku Nsonda, ne ku wankaaki ow’omu Kiwonvu, ne mu kifo bbugwe w’akyukira, era n’agissaako bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Uzziya n'azimba eminaala mu Yerusaalemi ku mulyango ogw'omu Nsonda ne ku mulyango ogw'omu Kiwonvu, ne ku bbugwe w'awetera, n'abinyweza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wuzziya era n'azimba eminaala mu Yerusaalemu ku Mulyango ogw'omu Nsonda, ne ku Mulyango ogw'omu Kiwonvu, n'ekigo we kiwetera, n'aginyweza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Uzziya n'azimba ebigo mu Yerusaalemi ku luggi olw'oku nsonda ne ku luggi olw'omu kiwonvu ne bbugwe w'akyukira, n'abinyweza.