2 Chronicles 27:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama nga Wuzziya kitaawe bwe yakola, naye obutafaanana nga ye, ye teyayingira mu Kiggwa kya Mukama. Abantu bo baayongera mu maaso n'emize gyabwe emibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde ng’abantu beeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, Yosamu yakola ebirungi mu maaso ga Mukama, nga kitaawe Uzziya bwe yakola; naye obutafaanana nga kitaawe bwe yakola, teyayingira mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yosamu n'akolanga ebirungi mu maaso ga Mukama, nga Uzziya kitaawe bye yakolanga, naye obutafaanana nga kitaawe, teyayingira mu Yeekaalu ya Mukama. Abantu bo ne beeyongeranga okukola ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yotamu n'akolanga ebirungi ebisanyusa Mukama, nga Wuzziya kitaawe bye yakolanga. Era ye teyayingira na maanyi mu Ssinzizo. Naye bo abantu ne beeyongeranga okukola ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Uzziya bye yakolanga: era naye teyayingiranga mu yeekaalu ya Mukama. Abantu ne beeyongeranga okukola eby'obukyamu.