2 Chronicles 27:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yotamu yalumba Abammoni n'abawangula; mu mwaka ogwo Abammoni baamusasula talenta kikumi eza ffeeza, ne kori omutwalo gumu ez'eŋŋano, ne sayiri wa kori omutwalo gumu. Abammoni baamusasula kye kimu mu mwaka ogwokubiri n'ogwokusatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yosamu n’alwana ne kabaka w’Abamoni n’amuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa ttani ssatu eza ffeeza ne desimoolo nnya, n’ebigero by’eŋŋaano obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri, n’ebigero bya sayiri obukadde bubiri mu emitwalo amakumi abiri. Abamoni ne bamuleeteranga ebintu byebimu mu bigero byebimu mu mwaka ogwokubiri ne mu mwaka ogwokusatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yosamu n'alwana ne kabaka w'Abamoni n'amuwangula, era omwaka ogwo Abamoni ne bamuwa omusolo gwa talanta kikumi (100) eza ffeeza, n'eŋŋaano ebigero omutwalo gumu (10,000), n'ebya sayiri omutwalo gumu (10,000). Era omusolo bwe gutyo Abamoni era gwe bamusasula mu mwaka ogwokubiri ne mu gw'okusatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alwanyisa Kabaka w'Abammoni n'amuwangula, Abammoni ne bamuwa mu mwaka ogwo omusolo gwa talanta kikumi eza ffeeza, ensawo omutwalo gumu ez'eŋŋaano n'ensawo omutwalo gumu eza bbaale. Era omusolo ogwenkana awo, gwe baamusasula mu mwaka ogwokubiri, ne mu gwokusatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'alwana ne kabaka w'abaana ba Amoni n'abawangula. Abaana ba Amoni ne bamuwa mu mwaka ogwo ffeeza talanta kikumi n'eŋŋaano ebigero kakumi ne sayiri kakumi. Era ebyenkana n'ebyo abaana ba Amoni ne bamusasula mu mwaka ogw'okubiri ne mu gw'okusatu.