2 Chronicles 27:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bya Yotamu, n'entabaalo ze zonna n'ebirala bye yakola, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yisirayeli ne Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yosamu, entalo ze yalwana, ne bye yakola, byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu, n'entalo zonna zeyalwana, ne by'eyakola, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirala Yotamu bye yakola, n'entalo zonna ze yalwana, n'enkola ye, byonna byawandiikibwa mu kitabo kya Bassekabaka ba Yisirayeli n'aba Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu n'entalo ze zonna n'amakubo ge, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.