2 Chronicles 28:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akazi yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri; yafugira mu Yeruzaalemu emyaka kkumi na mukaaga. Teyakola kituufu mu maaso g'Omukama nga Dawudi jjajjaawe bwe yakola,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akazi yali wa myaka abiri (20) we yatandikira okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga (16) mu Yerusaalemi. N'atakola birungi mu maaso ga Mukama, nga jjajjaawe Dawudi bye yakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga. N'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemu. N'atakola birungi ebisanyusa Mukama nga jjajjaawe Dawudi bye yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, n'atakola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe: