2 Chronicles 28:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno abantu ba Yuda ne Yeruzaalemu mwagala kubafuula baddu bammwe na bazaana. Muba nammwe temuzzizza musango mu maaso g'Omukama Katonda wammwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano, abasajja n’abakazi aba Yuda ne Yerusaalemi mumaliridde, okubafuula abaddu bammwe. Naye bwe mmwekebera, temulina kye mwali musobezza Mukama Katonda wammwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano mwagala okufuga abantu b'omu Yuda ne mu Yerusaalemi, okuba abaddu n'abazaana bammwe, naye nammwe temuliiko bibi bye mwakola ne munyiiza Mukama Katonda wammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano mwagala okufuga abantu b'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu babe abaddu n'abazaana bammwe. Naye mmwe temuliiko bibi bye mwakola ne munyiiza Mukama Katonda wammwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano mwagala okufuga abaana ba Yuda ne Yerusaalemi, okuba gye muli abaddu n'abazaana: naye nammwe temuliiko byonoono byammwe mmwe bye mwayonoona Mukama Katonda wammwe?