2 Chronicles 28:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne babagamba nti: “Abasibe temubaleeta wano kubanga twazzizza dda omusango ew'Omukama. Mwagala kwongera ku bibi byaffe na ku musango gwaffe ate nga guugwo munene, n'obusungu bw'Omukama obwesera bubwo buli ku Yisirayeli?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babagamba nti, “Temujja kuleeta basibe abo wano, kubanga mujja kutuleetako omusango eri Mukama nga mwongereza ku kibi ne ku musango bye tulina. Omusango gwaffe munene, n’obusungu bwe buli ku Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babagamba nti, “Temuleeta wano abasibe: twakola dda ebibi ne tunyiiza Mukama mu Isiraeri, okwonoona kwaffe kunene, temwongera musango gwaffe kuba munene.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babagamba nti: “Temuleeta wano abasibe. Twakola dda ebibi ne tunyiiza Mukama mu Yisirayeli, kubanga omusango gwaffe munene. Ate mwagala mwongere okugezza ebibi byaffe n'omusango gwaffe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne babagamba nti Temuyingizanga wano abasibe: kubanga mwagala ekyo ekirituleetako ekyonoono eri Mukama okwongera ku bibi byaffe ne ku kwonoona kwaffe: kubanga okwonoona kwaffe kunene, era waliwo ekiruyi ekikambwe eri Isiraeri.
Recommended Reading