2 Chronicles 28:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja abatongozebwa linnya ku linnya ne basituka ne batwala abasibe. Ne bayambaza abaali obwereere n'ezimu ku ngoye okuva ku munyago. Ne babawa engoye, engatto, emmere, ebyokunywa n'omuzigo ogw'okwesiiga, ne bassa ku ndogoyi bonna abaali bayenjebuse, ne babatwala eri baganda baabwe e Yeriko, Ekibuga eky'Enkindu, bo ne baddayo mu Samariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne balonda abasajja abaatwala abasibe ne baggya engoye mu munyago ne bambaza abo bonna abaali obwereere, ne babawa engoye endala, n’engatto, ne babawa emmere n’ekyokunywa, ne babanyiga n’ebiwundu. N’abaali abanafu ennyo bonna ne babasitulira ku ndogoyi, ne babazzaayo eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu, bo ne bakomawo e Samaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja abayogeddwako amannya gaabwe, ne basituka ne abo abasibe abaali obwereere ne babawa engoye, n'engatto, ne babaliisa ne babanywesa ne babasiiga amafuta. Abatalina maanyi ne babatwalira ku ndogoyi, ne babatuusa e Yeriko, ekibuga eky'enkindu, mu baganda baabwe, bo ne balyoka baddayo e Samaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abamaze okwogerwako amannya gaabwe, ne basituka ne batwala abo abasibe abaali obwereere ne babawa engoye, nga batoola ku munyago, ne babambaza era ne babawa engatto. Ne babafunira ebyokulya n'ebyokunywa. Ne babasiiga omuzigo. Abatalina maanyi ne babatwalira ku ndogoyi, ne babatuusa e Yeriko ekibuga ky'enkindu, mu baganda baabwe. Awo Abayisirayeli ne baddayo e Samariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasajja abaatuddwa amannya gaabwe ne bagolokoka ne baddira abasibe, ne bambaza omunyago abo bonna mu bo abaali obwereere mu bo n'omunyago, ne babawa engoye, n'engatto, ne babaliisa ne babanywesa ne babasiiga amafuta, ne basitulira ku ndogoyi bonna ku bo abanafu, ne babatuusa e Yeriko ekibuga eky'enkindu eri baganda baabwe; awo ne balyoka baddayo e Samaliya.