2 Chronicles 28:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yali atoowazizza Yuda olw'okubeera Akazi kabaka wa Yisirayeli, kubanga yali aleetedde Yuda okusobya, ate nga si mwesigwa n'akamu eri Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yakkakkanya nnyo Yuda olw’ebibi n’obutali bwesigwa bwa Akazi kabaka wa Isirayiri eri Mukama, Akazi bye yakola mu Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yafeebya nnyo Yuda olwa Akazi kabaka wa Isiraeri, kubanga yali akoze eby'effujjo, n'ataba mwesigwa n'anyiiza nnyo Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama yatoowaza Buyudaaya olwa Ahazi Kabaka wa Yisirayeli. Ahazi yali akoze eby'effujjo mu Buyudaaya n'anyiiza nnyo Mukama, n'ataba mwesigwa eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama yatoowaza Yuda olwa Akazi kabaka wa Isiraeri; kubanga yali akoze eby'ekyejo mu Yuda n'ayonoona nnyo Mukama.