2 Chronicles 28:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tilugati-Piluneseri kabaka wa Assuri n'ajja gy'ali, naye yabonyaabonya mubonyeebonye teyamuyamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tirugazupiruneseri kabaka w’e Bwasuli n’ajja gy’ali, n’amucocca mu kifo eky’okumuyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja gy'ali, n'amucocca mu kifo ky'okumuyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Tilugati Piluneseri, kabaka wa Assiriya bwe yajja, mu kifo ky'okumuyamba n'amuwakanya, n'amwongera kweraliikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja gy'ali, n'amweraliikiriza naye n'atamuwa maanyi.