2 Chronicles 28:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akazi n'atoola ebimu ku bintu mu Kiggwa ky'Omukama ne mu mbiri za kabaka, n'okuva mu bintu by'abalangira, n'abiwa kabaka wa Assuri; naye era tekirina kye kyamuyamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akazi n’aggya ebimu ku bintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, ne ku ebyo ebyali mu lubiri lwa kabaka, ne ku bya balangira n’abiwa kabaka w’e Bwasuli; naye ekyo ne kitamuyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akazi yaggya ebimu ku bintu mu nnyumba ya Mukama, ne mu nnyumba ya kabaka, ne mu za bakungu, n'abiwa kabaka w'e Bwasuli, era n'ekyo ne kitamuyamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Ahazi yabaako by'aggya mu Ssinzizo, ne mu lubiri lwe, ne mu nnyumba za bakungu, n'abiwa kabaka wa Assiriya, era ne kitamuyamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Akazi yaggya ekitundu ky'ebintu mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka n'ey'abakulu, n'akiwa kabaka w'e Bwasuli: naye ne kitamuyamba.