2 Chronicles 28:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatambirira balubaale b'e Damasiko abaali bamuwangudde, ng'agamba nti: “Balubaale ba bakabaka ba Aramu nga bwe babayambye, nange bwe nnaabatambirira bajja kunnyamba,” naye baaleetera buleetezi ye ne Yisirayeli yenna kuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awangayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko, abaali bamuwangudde, kubanga yalowooza nti, “Engeri bakatonda ba bakabaka b’e Busuuli bwe babayambye, nnaawaayo ssaddaaka gye bali, nange bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n’okwa Isirayiri yenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awaayo ssaddaaka eri bakatonda b'e Ddamasiko abaali bamuwangudde, Kubanga yagamba nti, “bakatonda ba bakabaka b'e Busuuli babayamba, nange kambawe ssaddaaka bannyambe.” Naye okwo kwe kwali okuzikirira kwe n'okwa Isiraeri yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'awaayo ebitambiro eri balubaale b'e Damasiko, abaamuwangula. N'agamba nti: “Balubaale ba bakabaka ba Siriya baabayamba, nange ka mbawe ebitambiro bannyambe.” Wabula ne bamuviiramu okuzikirira, ye ne Yisirayeli yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yawaayo ssaddaaka eri bakatonda b'e Ddamasiko abaamukuba: n'ayogera nti Kubanga bakatonda ba bakabaka w'e Busuuli babayamba kyennaava mpaayo ssaddaaka eri bo bannyambe. Naye ne bamuzikiriza ne Isiraeri yenna.