2 Chronicles 28:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bifaayo bye, n'amakubo ge, okuva ku ntandikwa okutuuka gye bikoma, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda ne Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyafaayo ebirala eby’omu mulembe gwe n’empisa ze zonna, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikolwa bye ebirala byonna n'amakubo ge gonna, okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirala byonna bye yakola, n'empisa ze zonna okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bassekabaka ba Buyudaaya n'aba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebikolwa bye ebirala byonna n'amakubo ge gonna, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.