2 Chronicles 28:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaweereza ebitambiro eby'obubaani mu kiwonvu Beni-Yinnomu; yawonga ne batabani be mu muliro ng'agoberera ebyenyinyalwa by'amawanga bye baakolanga, abo Omukama be yali agobyewo mu maaso g'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n’awaayo batabani be okuba ebiweebwayo ebyokebwa, ng’agoberera emizizo gy’abannaggwanga, Mukama be yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n'awaayo batabani okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'agoberera emizizo gy'ab'amawanga nga bwe gyali Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Hinnomu. N'ayokyanga ne batabani be mu muliro ng'ebitambiro, nga bwe yali empisa eyenyinyalwa ey'ab'amawanga, Mukama be yagoba mu nsi eyo, ng'Abayisirayeli batuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n'ayokera abaana be mu muliro ng'emizizo gy'ab'amawanga bwe gyali Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.