2 Chronicles 28:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda we n'amuwaayo mu mikono gya kabaka wa Aramu; Abaaramu ne bamuwangula ne bamuwambako bangi mu bantu be, ne baabatwala e Damasiko. N'aweebwayo mu mikono gya kabaka wa Yisirayeli, n'amukuba bubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli, eyamuwangula n’atwala abantu ba Yuda bangi nga basibe, n’abaleeta e Ddamasiko. Ate era yaweebwayo ne mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri, eyaleeta ku bantu ba Yuda ebisago ebinene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mikono gwa kabaka w'e Busuuli, ne bamuwangula, ne batwala abantu bangi nnyo nga abasibe, ne babaleeta e Ddamasiko. Ate era n'amuwaayo mu mikono gwa kabaka wa Isiraeri, eyamuttamu abantu be bangi nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'ebibi ebyo, Mukama Katonda we kyeyava amuwaayo mu mikono gya Kabaka w'e Siriya, n'amuwangula. Ne batwala abantu be bangi nnyo nga basibe, ne babaleeta e Damasiko. Era yaweebwayo mu mikono gya Kabaka wa Yisirayeli eyamuwangula ng'asse n'abantu be bangi ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda we kyeyava amugabula mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli; ne bamukuba ne batwala ku babe ekibiina kinene eky'abasibe, ne babaleeta e Ddamasiko. Era n'agabulwa mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri, n'amukuba olutta lunene.