2 Chronicles 28:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumu Peka mutabani wa Remaliya yatta mu Yuda abasajja abeesobola akasiriivu kamu mu emitwalo ebiri mu lunaku lumu, kubanga Yuda yali avudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Peka mutabani wa Lemaliya yatta abaserikale ba Yuda emitwalo kkumi n’ebiri mu lunaku lumu, kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Peka, mutabani wa Lemaliya, yatta mu Yuda mu lunaku lumu, abasajja abazira, emitwalo kkumi n'ebiri (120,000), kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Peka mutabani wa Remaaliya, yatta mu Buyudaaya abantu emitwalo kkumi n'ebiri mu lunaku lumu, bonna abasajja abazira kubanga baali bavudde ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Peka mutabani wa Lemaliya yatta mu Yuda ku lunaku lumu kasiriivu mu obukumi bubiri, bonna basajja bazira; kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.