2 Chronicles 28:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ba Yisirayeli ne bawamba mu baganda baabwe abantu obusiriivu bubiri, omwali ne bakazi baabwe, batabani ne bawala baabwe, ne babatwala wamu n'omunyago munene mu Samariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne bawamba abakyala, n’abaana aboobulenzi, n’aboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako n’omunyago mungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne batwala ku baganda baabwe ab'omu Yuda, abakazi, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, emitwalo abiri (200,000) nga basibe. Era ne babaggyako ebintu bingi, ne batwala omunyago e Samaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne batwala baganda baabwe ab'omu Buyudaaya, abakazi n'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, emitwalo amakumi abiri nga basibe. Era ne babaggyako n'ebintu bingi. Ne batwala omunyago e Samariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne batwala nga basibe ku baganda baabwe obusiriivu bubiri, abakazi, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, era ne babaggyako omunyago mungi, ne baleeta omunyago e Samaliya.