2 Chronicles 28:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo waaliyo omulanzi w'Omukama, erinnya lye Odedi; yagenda n'asisinkana eggye nga likomawo mu Samariya, n'abagamba nti: “Kituufu: Omukama Katonda wa bajjajjammwe abadde asunguwalidde Yuda, kyavudde amuwaayo mu mikono gyammwe, naye mmwe mubasanjaze n'obukambwe obwetuumye n'okutuuka ku ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Odedi nnabbi wa Mukama eyali eyo n’agenda okusisinkana eggye eryali lijja e Samaliya, n’abagamba nti, “Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyeyava abawaayo mu mukono gwammwe, kyokka mubasse n’ekiruyi n’okutuuka ne kituuka mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nnabbi wa Mukama, yali mu Samaliya, erinnya lye Odedi, naye n'afuluma okusisinkana eggye nga likomawo e Samaliya, n'abagamba nti, “Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abawaayo mu mikono gwammwe, era mubassizza obusungu obutuuse mu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omulanzi wa Mukama, erinnya lye Odedi yali Samariya, n'asituka okusisinkana eggye nga likomawo e Samariya. N'abagamba nti: “Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira ab'omu Buyudaaya, kyavudde abawaayo mu mikono gyammwe. Naye mubassizza obusungu obutumbidde okutuuka ku ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nnabbi wa Mukama yali eyo erinnya lye Odedi: naye n'afuluma okusisinkana eggye eryajja e Samaliya, n'abagamba nti Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abagabula mu mukono gwammwe, era mubassizza obusungu obutuuse mu ggulu.