2 Chronicles 29:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano we yafuukira kabaka; yafugira emyaka abiri mu mwenda mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Abiya, muwala wa Zakariya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka; n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Abiya muwala wa Zekkaliya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya yatandika okufuga nga wa myaka abiri mu etaano (25), n'afugira emyaka abiri mu mwenda (29) mu Yerusaalemi. Nnyina yali Abiya, muwala wa Zekkaliya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Heezeekiya yatandika okufuga nga wa myaka amakumi abiri mu etaano. N'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Abiya, muwala wa Zekariya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Keezeekiya yatanula okufuga nga yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abiya muwala wa Zekkaliya.