2 Chronicles 29:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno nze njagala nkole endagaano n'Omukama, Katonda wa Yisirayeli, obusungu bwe obwesera bukyukire eri butuveeko. 1
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama, Katonda wa Isirayiri obusungu bwe obw’amaanyi butuveeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama Katonda wa Isiraeri, okukyusa obusungu bwe obukambwe butuveeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano mmaliridde mu mutima gwange okukola endagaano ne Mukama Katonda wa Yisirayeli, okukyusa obusungu bwe obukambwe butuveeko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kiri mu mutima gwange okulagaana endagaano ne Mukama Katonda wa Isiraeri, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kituveeko.