2 Chronicles 29:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baana bange, muleke kugayaala; kubanga Omukama yabalonda mmwe mumuyimirirenga mu maaso, mumuweerezenga, mumutendenga, mumunyookezenga obubaani.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani bange temuddangayo kulagajjala nate, kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, n’okumwoterezanga obubaane.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani bange, temugayaala, kubanga Mukama abalonze mmwe okuyimiriranga mu maaso ge, okumuweerezanga, mubeerenga abaweereza be, mwotezenga obubaane.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batabani, temugayaala nno, kubanga Mukama abalonze mmwe, okuyimirira mu maaso ge okumuweereza, mube abaweereza be, era mwoterezenga obubaane.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baana bange, temutenguwanga nno: kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, era mubeerenga abaweereza be, mwotezenga obubaane.