2 Chronicles 29:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi ne basitukiramu: Okuva mu ssiga lya Kewati: Makati mutabani wa Amasayi ne Yoweli mutabani wa Azariya; okuva mu ssiga lya Merari: Kisi mutabani wa Abudi ne Azariya mutabani wa Yalleleli; okuva mu ssiga lya Gerusoni: Yowa mutabani wa Zimma ne Edeni mutabani wa Yowa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abaleevi ne batandika okukola era baali: Makasi mutabani wa Amasayi, ne Yoweeri mutabani wa Azaliya ab’omu lulyo lwa Bakokasi, ne Kiisi mutabani wa Abudi, ne Azaliya mutabani wa Yekalereri ab’omu lulyo lwa Merali, ne Yowa mutabani wa Zimma, ne Adeni mutabani wa Yowa ab’omu lulyo lwa Bagerusoni,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abaleevi ne batandika okukola, baali: Makasi, mutabani wa Amasayi, Yoweeri, mutabani wa Azaliya, ab'oku lulyo lwa ba Kokasi. Ab'oku lulyo lwa Merali baali: Kiisi, mutabani wa Abudi, Azaliya, mutabani wa Yekalereri. Ab'oku lulyo lwa ba Gerusoni baali: Yowa, mutabani wa Zimma, ne Edeni, mutabani wa Yowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abaleevi bano ne basituka: Mahati mutabani wa Amasaayi, ne Yoweeli mutabani wa Azariya ab'omu lulyo lw'Abakohati. Ab'omu lulyo lwa Merari: Kiisi mutabani wa Abudi ne Azariya mutabani wa Yehaleleli. Ab'omu lulyo lw'Abagerusooni: Yowa mutabani wa Zimma, ne Edeni mutabani wa Yowa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abaleevi ne balyoka bagolokoka, Makasi mutabani wa Amasayi, ne Yoweeri mutabani wa Azaliya, ab'oku baana ba Bakokasi: n'ab'oku baana ba Merali, Kiisi mutabani wa Abudi, ne Azaliya mutabani wa Yekalereri: n'ab'oku Bagerusoni, Yowa mutabani wa Zimma, ne Edeni mutabani wa Yowa: