2 Chronicles 29:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baakuŋŋaanya baganda baabwe ne beetukuza, ne bayingira ne baddaabiriza Ekiggwa kya Katonda, nga kabaka bwe yabalagira n'ekiragiro ky'Omukama nga bwe kiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza bo bennyini, n’oluvannyuma ne bayingira okutukuza yeekaalu ya Mukama nga kabaka bwe yali alagidde, ng’agoberera ebigambo bya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza, ne bayingira mu nnyumba ya Mukama, okugitukuza ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali, nga bagoberera ebigambo bya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe, ne beetukuza, ne bayingira mu Ssinzizo okulitukuza nga kabaka bwe yabalagira, ng'agoberera ebigambo bya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe ne beetukuza ne bayingira ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali olw'ekigambo kya Mukama, okulongoosa ennyumba ya Mukama.