2 Chronicles 29:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakabona ne bayingira munda mu Kiggwa ky'Omukama bakitukuze; byonna ebitali birongoofu bye baazuula mu Kiggwa ky'Omukama baabiggyamu ne babitwala mu luggya lw'Ekiggwa ky'Omukama, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduroni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama ne batukuzaamu. Ne bafulumya ebitaali birongoofu byonna ebyasangibwa mu yeekaalu ya Mukama ne babiteeka mu luggya lwa yeekaalu ya Mukama, Abaleevi ne babitwala ebweru mu Kiwonvu Kiduloni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona ne bayingira mu watukuvu wa Mukama, ne batukuzamu. Ne bafulumya ebitali birongoofu byonna ebyasangibwa mu Yeekaalu ya Mukama, ne babireeta mu luggya olw'ennyumba ya Mukama. Abaleevi ne babitwala ebweru ne babisuula mu kagga Kidulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona ne bayingira mu kisenge ekyomunda eky'Essinzizo okulongoosa. Ne baggyamu ebyo byonna bye baasanga mu Ssinzizo ebitali birongoofu, ne babireeta mu luggya lwalyo. Abaleevi ne babifulumya ebweru ne babisuula mu kagga Kidurooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona ne bayingira mu luuyi olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama okugirongoosa, ne baggyamu eby'obugwagwa byonna bye baalaba mu yeekaalu ya Mukama, ne babireeta mu luggya olw'ennyumba ya Mukama. Abaleevi ne babiddira okubifulumya ebweru eri akagga Kiduloni.