2 Chronicles 29:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogusooka baatandika okutukuza; ku lunaku olwomunaana olw'omwezi ogwo ne batuuka ku Kisasi ky'Ekiggwa ky'Omukama. Baamala ennaku endala munaana nga batukuza Ekiggwa ky'Omukama. Ne bamaliriza byonna ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutukuza ne kutandika ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye; ku lunaku olw’omunaana mu mwezi ogwo ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga batukuza yeekaalu ya Mukama; ku lunaku olw’ekkumi n’omukaaga olw’omwezi ogw’olubereberye ne bamaliriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baatandika okugitukuza ku lunaku olusooka olw'omwezi ogwolubereberye. Ku lunaku olw'omunaana olw'omwezi ne batuuka ku kisasi kya Mukama. Ne bamala ennaku munaana nga balongoosa ennyumba ya Mukama. Ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogwo ne bamalira ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baatandika okugitukuza ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'olubereberye. Ku lunaku olw'omunaana olw'omwezi ogwo, ne batuuka ku kisasi ky'Essinzizo. Ne bakolera ennaku endala munaana. Ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogwo, ne bamaliriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne basookera ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye okutukuza, ne ku lunaku olw'omwezi olw'omunaana ne batuuka ku kisasi kya Mukama; ne batukuza ennyumba ya Mukama nu nnaku munaana: ne ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogw'olubereberye ne bamalira ddala.