2 Chronicles 29:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagenda ewa kabaka Kezekiya ne bamugamba nti: “Tulongoosezza Ekiggwa ky'Omukama kyonna, n'omwaliiro gw'ekitambiro ekyokye n'ebyakwo byonna, n'emmeeza ey'Emigaati egy'Okwolesebwa, na byonna ebigenderako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagenda eri kabaka Keezeekiya ne bamutegeeza nti, “Tutukuzizza yeekaalu ya Mukama yonna, ekyoto eky’okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebintu byakwo byonna, n’emmeeza ey’emigaati egy’okulaga n’ebintu byakwo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne balyoka bagenda ewa Keezeekiya kabaka ne bamugamba nti, “Tumaze okulongoosa ennyumba ya Mukama yonna n'ekyoto ekiweerwako ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebintu byakyo byonna n'emmeeza ey'emigaati egy'okulaga n'ebintu byayo byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bagenda ewa Kabaka Heezeekiya ne bamugamba nti: “Tumaze okulongoosa Essinzizo lyonna n'alutaari y'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebikozesebwako byonna, n'emmeeza eteekebwako emigaati n'ebikozesebwako byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne balyoka bayingira eri Keezeekiya kabaka munda w'eriyumba ne boogera nti Tumaze okulongoosa ennyumba ya Mukama yonna n'ekyoto ekiweerwako ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebintu byakyo byonna n'emmeeza ey'emigaati egy'okulaga n'ebintu byayo byonna.