2 Chronicles 29:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tutukuzizza ne tutereeza eby'omu Kiggwa kabaka Akazi bwe yali ng'afuga bye yaggyamu mu bwonoonefu bwe. Byonna biri kati mu maaso g'omwaliiro gw'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ebintu byonna kabaka Akazi bye yaggyamu olw’obutali bwesigwa bwe, tubiteeseteese ne tubitukuza, era laba biri mu maaso g’ekyoto kya Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne bintu byonna kabaka Akazi bye yasuula, bwe yayonoona nga ye afuga, tubitegese ne tubitukuza, era biri mu maaso g'ekyoto kya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebikozesebwa byonna Kabaka Ahazi bye yasuula nga ye afuga, bwe yakola ebitasaana, tubitegese ne tubitukuza, era kaakano biri mu maaso ga alutaari ya Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ebintu byonna kabaka Akazi bye yasuula bwe yayonoona nga ye afuga, tubitegese ne tubitukuza; era, laba, biri mu naaso g'ekyoto kya Mukama.