2 Chronicles 29:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baleeta ente ennume musanvu, endiga ennume musanvu, obuliga obulume musanvu, n'embuzi ennume musanvu ez'ekitambiro olw'ekibi olw'okubeera obwakabaka, olw'Ekiggwa n'olwa Yuda. Kabaka n'alagira bakabona, batabani ba Aroni, babiweereze ku mwaliiro gw'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baleeta ente ennume musanvu, n’endiga ennume musanvu, n’endiga ento nga nnume musanvu, n’embuzi ennume musanvu okuba ebiweebwayo olw’ekibi ku lw’obwakabaka, ne ku lwa watukuvu, ne ku lwa Yuda. N’alyoka alagira bakabona, bazzukulu ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baleeta ente musanvu, n'endiga ennume musanvu, n'abaana b'endiga musanvu n'embuzi ennume musanvu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi ku lw'obwakabaka ne ku lwa watukuvu ne ku lwa Yuda. N'alagira bakabona bazzukulu ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baleeta ente ennene musanvu, n'endiga ennume musanvu, n'abaana b'endiga, n'embuzi ennume musanvu nga kye kiweebwayo olw'ebibi ku lw'obwakabaka ne ku lw'Essinzizo ne ku lwa Buyudaaya. N'alagira bakabona bazzukulu ba Arooni okubiweerayo ku alutaari ya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baleeta ente musanvu n'endiga ennune musanvu n'abaana b'endiga musanvu n'embuzi ennume musanvu okuba ekiweebwayo olw'ekibi olw'obwakabaka n'olw'ekigwa n'olwa Yuda. N'alagira bakabona batabani ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama.