2 Chronicles 29:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona ne bazitta, omusaayi gwazo ne bagussa ku mwaliiro ng'ekitambiro olw'ekibi okuddaabiriza olwa Yisirayeli yenna, kubanga kabaka yali alagidde ekitambiro ekyokye n'ekitambiro olw'ekibi biweerezebwe olwa Yisirayeli yenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’oluvannyuma bakabona ne bazitta, ne bawaayo omusaayi gwazo ng’ekiweebwayo olw’ekibi ku kyoto, okutangiririra Isirayiri yenna, kubanga kabaka yali alagidde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo olw’ekibi ku lwa Isirayiri yenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona ne bazitta ne bawaayo omusaayi gwazo ku kyoto, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okutangirira Isiraeri yenna: kubanga kabaka yalagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi olwa Isiraeri yenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona ne bazitta, ne bayiwa omusaayi gwazo ku alutaari, nga kye kitambiro eky'okuggyawo ebibi by'abantu bonna Abayisirayeli, kubanga kabaka yalagira nti ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ebibi, biweebweyo ku lw'Abayisirayeli bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bakabona ne bazitta ne bawaayo ekiweebwayo olw'ekibi n'omusaayi gwazo ku kyoto, okutangirira Isiraeri yenna: kubanga zabaka yalagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi olwa Isiraeri yenna.