2 Chronicles 29:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassa Abaleevi mu nnyumba y'Omukama nga balina ensaazo, ennanga n'entongooli nga Dawudi bwe yalagira ne Gaadi omulabi wa kabaka ne Natani omulanzi; kino Omukama yali akiragidde ng'ayita mu balanzi be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ateeka Abaleevi mu yeekaalu ya Mukama nga balina ebitaasa, entongooli, n’ennanga, ng’ekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka ne Nasani nnabbi bwe kyali; kubanga ekiragiro ekyo kyava eri Mukama ng’ayita mu bannabbi be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateeka Abaleevi mu nnyumba ya Mukama, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ng'ekiragiro kya Dawudi, ne Gaadi omulabi wa kabaka, ne Nasani nnabbi bwe kyali. Kubanga ekiragiro kyava eri Mukama nga kiyita mu bannabbi be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ateeka Abaleevi mu Ssinzizo, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, nga Kabaka Dawudi ne Gaadi omulabi wa kabaka, ne Natani omulanzi bwe baalagira. Ekyo Mukama ye yakiragira ng'ayita mu balanzi be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ateeka Abaleevi mu nnyumba ya Mukama nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Gaadi omulabi wa kabaka n'ekya Nasani nnabbi: kubanga ekiragiro kyava eri Mukama mu bannabbi be.