2 Chronicles 29:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'alagira baweereze ku mwaliiro ekitambiro ekyokye. Okutambira bwe kwatandika kuti, n'okuyimbira Omukama ne kutandika, wamu n'okunyaanyaagiza amakondeere nga biwerekerwako ebivuga bya Dawudi kabaka wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya n’alagira okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Era okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwatandika, abayimbi nabo ne batandika okuyimbira Mukama, n’amakondeere n’ebivuga ebirala ebya Dawudi kabaka wa Isirayiri nabyo ne bivuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya n'alagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Awo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyatandika okuweebwayo, ne batandika n'okuyimbira Mukama, wamu n'okufuuwa amakkondeere n'okukuba ebivuga bya Dawudi ssekabaka wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya n'abalagira okuweerayo ku alutaari ekiweebwayo ekyokebwa. Ekiweebwayo bwe kyatandika okuweebwayo, ne batandika n'okuyimbira Mukama, n'okufuuwa amakondeere n'okukuba ebivuga bya Dawudi kabaka wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Keezeekiya n'alagira okuweerayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Awo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyatanula okuweebwayo, era n'oluyimba lwa Mukama ne lutanula, n'amakondeere wamu n'ebintu bya Dawudi kabaka wa Isiraeri.