2 Chronicles 29:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna ne kisinza, eno abayimbi nga bwe bayimba, n'ab'amakondeere nga bwe bagafuuwa, okutuusa okuweereza ekitambiro ekyokye lwe kwamalirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, n’abamakondeere ne bagafuuwa, era ebyo byonna ne byongerwa okukolebwa okutuusa okuwaayo ssaddaaka ey’ekiweebwayo ekyokebwa bwe kwaggwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekibiina kyonna ne basinza, abayimbi ne bayimba, n'abafuuwa amakkondeere ne bafuuwa. Byonna ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abaali bakuŋŋaanidde awo ne basinza. Abayimbi ne bayimba, n'abafuuyi b'amakondeere ne bagafuuwa. Byonna ebyo ne bibaawo bwe bityo, okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ekibiina kyonna ne basinza abayimbi ne bayimba, n'abafuuwa amakondeere ne bafuuwa; ebyo byonna ne byeyongera okubaawo okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo.