2 Chronicles 29:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'ayongera n'agamba nti: “Mumaze okwewongera Omukama, musembere muweereze mu Kiggwa ky'Omukama ebitambiro n'ebitone olw'okwebaza.” Ekibiina kyonna ne kireeta ebitambiro n'ebitone olw'okwebaza, ate abeeyagalidde ne baleeta ebitone eby'ebitambiro ebyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Keezeekiya n’ayogera nti, “Kaakano mwetukuzizza eri Mukama, musembere, muleete ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokwebaza mu yeekaalu ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n’ebiweebwayo eby’okwebaza, n’abo bonna abeesiimira ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'agamba nti, “Kaakano nga bwe mwewonze eri Mukama, musembere muleete ssaddaaka n'ebiweebwayo olw'okwebaza mu nnyumba ya Mukama.” Ekibiina ne kireeta ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaza. Era bonna abaalina omutima ogwagala ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya n'agamba nti: “Kaakano nga bwe mwewonze eri Mukama, musembere muleete mu Ssinzizo ebitambiro n'ebiweebwayo olw'okwebaza.” Bonna abaali bakuŋŋaanye ne baleeta ebitambiro n'ebiweebwayo olw'okwebaza. Era bonna abaali baagala, ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'addamu n'ayogera nti Kaakano nga mwewonze eri Mukama, musembere muleete ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaliza mu nnyumba ya Mukama. Ekibiina ne bayingiza ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaza; ne bonna abaalina nmutima ogwagala ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.