2 Chronicles 29:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona baali batono, nga tebamala kubaaga bitone bya kitambiro ekyokye; baganda baabwe Abaleevi kyebaava babayambako okutuusa omulimu lwe gwaggwa, n'okutuusa nga bakabona abalala bamaze okwetukuza, anti bo Abaleevi baali beesimbu ku ky'okwetukuza okusinga bakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga biweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza; omulimu ne guggwa, kubanga Abaleevi baali beegendereza nnyo mu kwetukuza okusinga bakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabula bakabona ne baba batono ne batayinza kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna, baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa bakabona abalala bwe beetukuza, omulimu ne guggwa. Abaleevi bassaayo nnyo omwoyo okwetukuza okusinga bakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bakabona baali batono, nga tebasobola kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna. Baganda baabwe Abaleevi ne babayambako okutuusa ne bakabona abalala lwe baamala okwetukuza era okutuusa omulimu lwe gwaggwa. Kubanga Abaleevi bassaayo nnyo omwoyo okwetukuza okusinga bakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bakabona ne bayinga obutono ne batayinza kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna: baganda baabwe Abaleevi kyebaava babayamba okutuusa omulimu lwe gwaggwaawo era okutuusa bakabona lwe baamala okwetukuza: kubanga Abaleevi baasinga bakabona okuba n'omutima omugolokofu okwetukuza.