2 Chronicles 29:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebitone eby'ebitambiro ebyokye byali bingi, era n'amasavu g'ebitambiro eby'okussa ekimu n'ebitone eby'okuyiwa ebigendera ku byokye. Bw'etyo entendereza y'omu nnyumba y'Omukama n'eddamu buto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiweebwayo ebyokebwa bingi, wamu n’amasavu ag’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebyawerekerezebwa ku biweebwayo ebyokebwa. Okuweereza mu yeekaalu ya Mukama ne kuzzibwawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo, wamu n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebya buli kiweebwayo ekyokebwa. Awo okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama ne kuzzibwawo bwe kutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo, ne kweyongerako n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'okutabagana, n'ebyokunywa ebyaweerwayo awamu n'ebiweebwayo ebyokebwa. Awo okusinza okw'omu Ssinzizo ne kuzzibwawo bwe kutyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe n'ebiweebwayo ebyokunywa ebya buli kiweebwayo ekyokebwa. Awo okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama ne kuteekebwateekebwa bwe kutyo.