2 Chronicles 29:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'abantu bonna ne basanyuka olw'Omukama bye yali akoledde abantu be, kubanga byakolwa mangu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Keezeekiya n’abantu bonna ne bajaguza olw’ekyo Katonda kye yali akoledde abantu be mu bbanga ettono ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'abantu bonna n'ebasanyuka, kubanga Katonda yabayamba ne bakola ebyo byonna mu bbanga ettono ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya n'abantu bonna ne basanyuka, kubanga Katonda yabayamba ne bakola ebyo byonna amangu ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'asanyuka n'abantu bonna olw'ekyo Katonda kye yategekera abantu: kubanga ekigambo ekyo baakikolera awo mangu ago.