2 Chronicles 29:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Abaleevi, mumpulirize. Kati mwetukuze, mutukuze n'Ekiggwa ky'Omukama Katonda wa bajjajjammwe. Mu kitukuvu muggyemu buli kyonna ekikijaajamya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abagamba nti, “Mumpulirize Abaleevi, kaakano mwetukuze, ate mutukuze ne yeekaalu ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggye buli kitali kirongoofu mu watukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Mumpulirize, mmwe Abaleevi, kaakano mwetukuze, mutukuze n'ennyumba ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggyemu kyonna ekitali kirongoofu mu kifo ekitukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mmwe Abaleevi, muwulire kye ŋŋamba. Kaakano mwetukuze, mutukuze n'Essinzizo lya Mukama Katonda wa bajjajjammwe. Ekifo Ekitukuvu mukiggyeemu byonna ebikyonoona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Mumpulire, mmwe Abaleevi; kaakano mwetukuze, mutukuze n'ennyumba ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggyeemu eby'obugwagwa mu kifo ekitukuvu.