2 Chronicles 29:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakitaffe tebaali beesigwa, baakola ebitasanyusa mu maaso g'Omukama Katonda waffe; baamwabulira, ne baggya amaaso ku Kisulo ky'Omukama, ne bakikuba amabega.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bajjajjaffe baayonoona, ne bakola ebitali birungi mu maaso ga Mukama Katonda waffe ne bamuvaako. Baggya amaaso gaabwe ku kifo Mukama gy’abeera, ne bamukuba amabega.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bajjajjaffe baasobya ne bakola ebyali mu maaso ga Mukama Katonda waffe ebibi, ne bamuvaako, ne bakuba amabega ekifo Mukama mw'abeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga bajjajjaffe baayonoona ne bataba beesigwa eri Mukama, Katonda waffe, ne bamuvaako, ne bakuba amabega ekifo mw'abeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bajjajjaffe baasobyanga ne bakolanga ebyali mu maaso ga Mukama Katonda waffe ebibi ne bamuleka ne bakyusa amaaso gaabwe okuva eri ekifo Mukama mw'abeera ne bakikuba amabega gaabwe.