2 Chronicles 29:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bw'Omukama kyebwava busitukira ku Yuda ne ku Yeruzaalemu n'abafuula ekyesisiwaza, ekyentiisa era ekinyoomebwa, nga nammwe mwennyini bwe mulaba n'amaaso gammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwa Mukama kyebwava bukka ku Yuda ne ku Yerusaalemi, era abafudde ekikangabwa, n’ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n’amaaso gammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama kye bwava bubeera ku Yuda ne Yerusaalemi, era abafudde ekisekererwa era ekinyoomebwa, nga bwe mulaba n'amaaso gammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyeyava asunguwalira ab'omu Buyudaaya ne mu Yerusaalemu n'abatuusa ku buzibu obuleetera buli muntu okwewuunya n'okwesooza, nga bwe mukyerabirako n'amaaso gammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama kyebwavanga bubeera ku Yuda ne Yerusaalemi, era abawaddeyo okubayuuganya eruuyi n'eruuyi, okusamaalirirwa n'okusoozebwa, nga bwe mulaba n'amaaso gammwe.