2 Chronicles 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiwaawaatiro by'omukerubi omu nga byeyanjuluzza nga biwerako emikono amakumi abiri. Ekiwaawaatiro ky'omukerubi omu nga kiriko emikono etaano, nga kikwata ku kisenge ky'Ekiggwa; ekiwaawaatiro ekirala nga kuliko emikono etaano, nga kikwata ku kiwaawaatiro ky'omukerubi owookubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obugazi bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ng’ekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, n’ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebiwawaatiro bya bakerubi bombi obuwanvu bwabyo bwali emikono abiri (20), ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro kye eky'okubiri nakyo bwe kityo nga kiweza emikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiwaawaatiro bya bakerubi abo bombi, byonna awamu nga byanjuluziddwa, byali biweza obuwanvu bwa mita mwenda. Ekiwaawaatiro eky'omu, kyali kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kituuka ku kisenge ky'Essinzizo, n'ekiwaawaatiro kye ekirala, nakyo kya mita bbiri n'obutundu bubiri, nga kikwata ku kiwaawaatiro kya kerubi munne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebiwawaatiro bya bakerubi obuwanvu bwabyo emikono amakumi abiri: n'ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro eky'okubiri nakyo bwe kityo kya mikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.